01/10/2019
ABATEGEKA EBIVVULU BYABAYIMBI E MASAKA BALABUDDWA.
Okuva abantu lwebaatabuka nebookya ebyuma bya Disco ya VIBA e Buyaga muggombolola ye Buwunga Masaka disitulikiti ,RDC we Masaka Harman Ssentongo ayitiddewo olukiiko olwamangu olutudde ku hotel ya Maria Flo mukibuga Masaka eranga luno lwetabiddwamu abakulu mubyokwerinda omuli RPC,DISO,O.C we Masaka nabantu abaafiriddwa emmaali yaabwe.
Mukutegeka olukiiko luno RDC abadde ne Tonny Ssempijja Codnator we Kibiina kya UMPONET ekitwala bannanyini bifo ebisanyukirwamu nabategesi bebivvulu.
Mukukubaganya ebirowoozo okubaddemu abantu banenyezza Police olwokubasaba sente eziyitiridde nga bategeka nokubassaako obukwakkulizo obukakali omuli nokuleeta ebbaluwa okuva ewa IGP kyebagambye nti kibakaluubiriza omulimu gwabwe.
RDC mukwogerakwe anenyezza abamu ku bategesi abagayaala okukola endagano nabayimbi nebatuuka nokulemwa okujja ku shows mu budde.
Abantu banji aboogedde okubadde nanyini Disco eyasaanawo omwami Sansa eyanenyezza Police okulemwa okutuuka mu budde nebatuuka nokusanyawo ebyuma bye.
Kakati RDC alabudde abategeka bonna obutaddamu kutegeka kivvulu kyonna nga tebafunye bbaluwa kuva ku Police. Ate yyeTonny Sempijja asabye Police okubakkiriza okukolagana awamu nabo basobole okukuuma e mirembe ngabali wamu nekitongole kya security ekya UUBA.
Keep Watching