Makindye Mutuba lll

Makindye Mutuba lll Official page of Mutuba III Makindye Kibuga, one of the sub county in Kyadondo County Buganda Kingdom

Full-time at Wankulukuku Butiiko 3-2 Mmamba Namakaka ⚽Edrine Kagende⚽Stephen Namuwanda ⚽Richard Wandyaka⚽⚽John Wesley Ki...
27/04/2024

Full-time at Wankulukuku

Butiiko 3-2 Mmamba Namakaka

⚽Edrine Kagende
⚽Stephen Namuwanda
⚽Richard Wandyaka

⚽⚽John Wesley Kisakye for Mmamba Namakaka

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu byafaayo bya Uganda eno!
27/04/2024

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu byafaayo bya Uganda eno!

Abawereza ba Mutuba 3 Makindye Kibuga, eghombolora empanguzi mubyonna
26/04/2024

Abawereza ba Mutuba 3 Makindye Kibuga, eghombolora empanguzi mubyonna

Obwakabaka bwa Buganda Bukakasizza, nti enteekateeka zonna ziwedde ez'okuggalawo emipiira gy'ebika bya Baganda ez'omupii...
26/04/2024

Obwakabaka bwa Buganda Bukakasizza, nti enteekateeka zonna ziwedde ez'okuggalawo emipiira gy'ebika bya Baganda ez'omupiira ogw'ebigere olunaku olw'enkya ku lw'omukaaga mu kisaawe e Wankulukuku.

Mumupiira oguggulawo, Bazukulu ba Gabunga abeddira e Mamba be bagenda okuggulawo empaka zino nga battunka ne bazukulu ba Ggunju abeddira Obutiko kusaawa 10.

Wabula nga omupiira guno tegunatandika, wagenda kugenda kusooka omupiira ogw'okulwanira ekifo eky'okusatu mu kubaka wakati we Ngeye nge ettunka ne Njovu ate oluvanyuma waddewo final wakati we Mamba Namakaka nga ettunka ne Nnyonyi Enyange.

Emiryango gye kisaawe e Wankulukuku gigenda kuggulwawo kusaawa 2 ezokumakya nga okuyingira kwa shs omutwalo 1 ne mitwalo 2.

Minisita ow abavubuka emizannyo ne bitone, oweek Robert Sserwanga Ssalongo, ategeezezza nti enteekateeka zonna ziwedde bulungi era nakunga abazukulu buli omu mu Kika kye nabantu bonna enkya okugwera mu kisaawe e Wankulukuku.

Kinnajjukirwa nga Bazukulu ba Kisolo abe Ngoonge be bawangula engabo ey'omupiira ogw'ebigere omwaka oguwedde ate bazukulu ba Kasujja abeddira Engeye ne bawangula engabo ey'omupiira ogw'okubaka.

Address

Makindye Luwafu
Kampala

Opening Hours

Monday 08:00 - 17:00
Tuesday 08:00 - 17:00
Wednesday 08:00 - 17:00
Thursday 08:00 - 17:00
Friday 08:00 - 17:00
Saturday 08:00 - 12:30

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Makindye Mutuba lll posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Share