25/10/2024
Omuganda wonna woori, naawe atali muganda naye nga oli muwulize eri Buganda, weetegereze bino;
Okulima emmwanyi wamu nemmere kifuule kyannono mumutima gwo. Kikole n'obwagazi, era newaba akumalamu amaanyi. Byonna ebitukaayanya bigyakuggwa naye nga ggwe ng'omuntu olina ennimiro.
Ebigambo n'ebikolwa ebitali birungi eri ffe abantu, bijjakuggwa anti ne Obote byeyayogera nebyeyakola byafuuka lufumo kuba yye yafa naye abaganda weebali era bebasinga obingi muggwanga.
Abazze boogerera Buganda amafuukuule, abamu bafudde, abalala ebifo mwebazze babyogerera tebakyabirimu. Kale basaanidde bakimanye nti tewali kisobola kubaawo nga Mukama Katonda eyatondawo ensi Buganda tasazeewo.
ABALINA ETTAKA MUGENDE MULIME EMMERE, ENVA N'EMMWANYI.