09/12/2025
Tukitegeddeko nti balooya ba Mathias Walukagga, akakiiko k'ebyokulonda gwe kaggye mu lwokaano lw'obwa MP wa Busiro East beetala nga bano baagala kujulira mu kkooti enkulu esazeemu bino ebisaliddwawo oba ebiyimirize olwo Walukagga agende mu maaso n'okuwenja akalulu akanaamutuusa ku bwa MP nga basinga kuttunka ne Owek. Medard Lubega Sseggona, Hajji Abdul Kiyimba, Emmanuel Matovu Magoola.
LOOYA ABYOGEDDE: Looya Ismael Ddibya Wagaba ono nga naye yavuganyaako ku kkaadi ya NUP ku kifo kyekimu, ategeezezza ONO BWINO nti kati ssaawa ya kuttunkira mu kkooti twawule abalenzi ku basajja, era nti Walukagga bwanaayungula balooya abategeera era abamanyi okuwoza emisango gy'ebyokulonda, ajja kuwangula bamuzze ku kakonge avuganye ku bwa MP wa Busiro East.