09/02/2023
OLUGERO
*Endogoyi ne Wakayima*
Edda ennyo, ensolo emanyiddwa nga Endogoyi yava eyo mu nsi ye Bulungaana n'egenda asenga mu nsi endala nga ekooye okubeera okumpi nab'engaanda zaayo abaalemwa okukola ebyabwe ne baddanga mukusaba yo.
Wandogoyi nga atuuse mu nsi endala yafuna omukwano ne Wakayima kuba yamuyamba nnyo okukkalira ku kyalo kweyali asenze. Wandogoyi ne Wakayima🐰 omukwano gwabwe gwanywerera ddala era nga buli nsonga bawuliziganya ne bawangana n'amagezi.
Eby'embi mu budde obwo ensi yagwaamu ekyeya eby'okulya ne bifuuka ak'okulya, amazzi ne gafuuka otuzzi. Ate munange, ensi bwegwamu ekyeeya n'essente zifuuka akasente.
Eky'ennaku ate era mu kiseera ekyo ky'ekimu Mukyala wa Wakayima weyalwalira obulwadde obw'amaanyi. Wakayima yasitula omulwadde n'amukuba ew'omuganga okutaasa obulamu bwe.
Wakayima ensimbi zatuuka n'okumugwako nga zonna azivujjiridde omuganga.
Ensimbi nga zimwekubya mpi, Wakayima yeekuba ku musajja munne Wandogoyi amuwoole, omutwalo gw'ensimbi ataase obulamu bwa Mukyalawe.
Wandogoyi yalumiriza Wakayima nti,"Munange baajaajja baalugera nti ekitta omukwano kuwola na kwazika, naye siyinza kukuleka mu buziibu, okuumanga obwesige, n'otandyazamanya".
Wakayima yalayira nga bwagenda okutukiriza era ensimbi Wandogoyi nazimuwa nga talina kyamusingidde mu nkola ya bwa Sseruganda.
Mukama mulungi, kuba Mukyala Wakayima ekimbe yakiwona naye nga ye Wakayima yasigala yeyaguza luggyo. Nga wayise ekiseera Wandogoyi yajjukiza Wakayima okumusasula naye nga buli mulundi Wakayima amusaba ayongere okumugumikiriza.
Wandogoyi yatambula enkya ne ggulo n'obwooya ne butuuka okumuggwa ku magulu. Nga bwajja ku mankya nga Wakayima amugamba nti,
"Sseruganda lwaki okeera okumanja n'onkuba ebisiraani, olwo nakusasula ntya ng'emikisa ogisse?"
Omulundi ogwaddako Wandogooyi yajja mu ttuntu, Wakayima n'amukaayukira nnyo nti,
"Sseruganda, lwaki ogera mu ttuntu n'olyoka ojja okumanja mu musana omungi bweguti, nze munange bwenjokebwako omusana zigwamu akategeera".
Ate nga wayise ennaku Wandogoyi yajja okubanja nga enkuba effuyirira, Wakayima ku luno n'okuboggola yaboggola nti,
"Sseruganda naawe beeramu ak'obuntu, mazima oyinza otya okubanja munno ng'enkuba ettonya?"
Omulundi omulala Wandogoyi yagera nga buwungeera najja okubanja, naye Wakayima teyamulinda nakutuula namwambalira nti,
"Sseruganda siganye omanja era nja kusasula naye mu butuufu oyinza otya okubanja munno obudde nga buwungeera, kumpi buno obudde buzibye, lwaki tolindako,olowooza obudde tebuukye?"
Omulundi guno Wandogoyi yanyigira nnyo Wakayima era namugamba nti kale enkya yali wakujja nga bukyali misana era nalayira nti ku luno yalina okusasulwa ssente ze.
Bwe yali afuluma Wandogoyi yagamba Wakayima nti we byali bituuse yali wakubowa ku by'obugagga bya Wakayima yeesasule.
Ekiro ekyo Wakayima yayiiya amagezi era bwe bwakeera n'alagira Mukaziwe omuzinge mukirago asseko emmuli yetolooze bulungi n'emmuli, amusibe ng'olusekese asse awo mu luggya.
Muka Wakayima yakola nga bba bweyamulagira era kumpi yali yakamaliriza bwati ne Wandogoyi nga ali wamu ne batabani be babiri ne batuuka.
Wandogoyi yabuuza Mukyala wa Wakayima, omwami gyeyali alaze era omukyala Bba gweyali abulidde eby'okwogera n'amugamba nga bwasonga ku lusekese nti,yali agenze kunoonya ab'okumusitulirako ku Mantambutambu ga Kabaka geyali atwala mu lubiri ng'amakula.
Wandogoyi mu busungu kwe kugamba batabaani be basitule olusekese balutwale okutuusa Wakayima lwanamusasula.
Wandogoyi yewaana nti, " ekirungi bino bintu bya Beene, Wakayima aleete mangu ensimbi zange ndyoke mbimuddize".
Wandogoyi bweyatuuka ewuuwe n'alagira batabaani be olusekese balusimbe emanju ku mutuba.
Wakayima eyali munda mu lusekese yalaba bamulesse manju ne yesumulula nasitulawo ne byeyali asibiddwamu n'adduka.
Akaseera nga kayiisewo Wandogoyi yalengera Wakayima nga ajja adduka nga bwasangula entuuyo n'omukono ogumu nga mumukono omulala akutte ensawo.
Wakayima ne munju teyayingira, wabula yafukamira ku ttaka nagamba Wandogoyi nti, "Munange kiki kino ky'okoze wadde mweno ensi wasengamu bukulu naye ekiseera ky'omaze kuno obuwangwa bwaffe ne nnono wandibadde obiyize toyinza kuwamba bintu bya Mutanda. Yayongerako nti;
"Ensimbi zo ziizino nzireese, kwegayiridde mpa amantambutambu ga Kabaka ngatwale nga tanabiwulira".
Wandogoyi yaseka ne yewaana amagezi nti era taba kusitukira mu bintu bya mbuga Wakayima abadde si wakusasula.
Naye Wandogoyi kata agwewo ekigwo bweyetoolola emanju weyatadde olusekese nga teluliiwo. Wakayima yaggwa wansi neyevulungula mu ttaka nga bwalumiriza munne nti,
"Wandogoyi onzise nkole ntya nze, Ssabasajja anawulira atya nti amantambutambu ge gabuze, nti omusajja omulungaana yagattute, nfudde nze"
Wandogoyi yanoonya wonna olusekese ne lumubula. Yeegayirira Wakayima atwalemu ensimbi zeyali azze okusasula naye ebigambo bikome awo Kabaka aleeme okubiwulira, Wakayima ne yeerema.
Wandogoyi yegayirira Wakayima amubuulire amantambutambu kyegategeeza agende agagule agazeewo nga Wakayima ayogera kimu nti, Amantambutambu era ge Mantambutambu.
Abantiu bakungaana ne bawerera ddala ekyali kikutte ku "makula ga Nnyinimu" nga tebiyinza kuleka muntu waka.
Embeera ng'erinnye enkandago, omwami wa Kabaka atwala ekyalo yayitibwa kyokka naye mu butuufu nga tamanyi Matambutambu kyekitegeeza naye mukutya okuswala yakungiriza bukungirizi nti "kino kitalo, amatambutambu g'embuga okubula".
Ekibi kikira engooma okulawa ebigambo byabubbuuka ng'oluyiira ne bituuka ku Kabaka. Kabaka yatumya Wandogoyi ne Wakayima era bwebatuuka Wakayima n'alumiriza nnyo nti,
"Ssebo Nyinimu amatambutambu gembadde nkuleetera naawe wenyini togalabangako kuba nagajja eyo mu nsi eyewala era ne ku mulembe gwa Jjaajawo bweyali ng'alamula jjaajange yamuleetera amatambutambu.
Wakayima yayongerako nti,
"Mukama wange ne kitaawo Ssekabaka eyabula, kitange yamuleetera Amatambutambu mu ngeri yemu, kale nze nange kinkakatako era kyannono okukuwa Amantambutambu era gunsinze nnyo, nakumye bubi Mukama wange."
Kabaka naye olwawulira bino n'atabuka, Wandogoyi ne batabaani be ebigambo byali bibaweddeko.
Kabaka yayita abawi bamagezi basalewo eky'okukolera Wandogoyi ne Batabaani be. Omusango gwamala ennaku mwenda nga guwozesebwa era Wandogoyi ne gumusinga anti yabulwa wadde omuntu omu bwati okumuwolerezako.
Buli yabiwuliranga ng'agamba kimu nti wadde Wandogoyi yabadde abanja naye bwebalimugambye nti ebintu bya Kabaka teyandibikutteko, kuba Kabaka munyango, Nnantamanyirwa.
Kabaka mu bukambwe obw'ekitalo yawa abawawabirwa ekibonerezo.
" Wandogoyi amusango gwewaza gwannagomola era owereddwa ekibonerezo ggwe, abaana bo ab'obuwala n'obulenzi, bazzukulu bo ne bazzukulu ba bazzukulu bazukulu bo.....muggya kukozesebwanga emirimu egy'amaanyi obulamu bwamwe bwonna nga temusasulwa era toliddamu kuba n'amaka agago okuva leero ojja kuberanga mu maka gabalala nga eky'obugagga kyaabwe "
Wakayima olwawulira bino nagwa mu maaso ga Kabaka ne yeyanza nnyo era nakwata ekisawo kye omwali ensimbi n'adda awuwe mu ssanyu.
Nze webyatuuka wano kwekusalawo nve mu Nsi eyo nzire okwaffe, kuba namanya nti kiziibu nnyo omugwira okuwangula omusango mu Nsi mwotazalwa.
Naleka Bawandogoyi batandise ekibonerezo kyabwe nendaganya okuddayo mu nsi eyo nga wayise akaseera ndabe oba ddala Wakayima ebintu bikyamugendera bulungi songa ddala yalimba bulimbi, munne yamuwayiriza buwayirizi....era lujja kuba lumu mbanyumize ebyaddirira.
Nange awo wennalabira.
BY KABANDA MUSOKE
Ensi Buganda Tukuleetera ebyafaayo bya Buganda N'ebyo byonna byosaanye okumanya Ku Nsi Buganda