Buganda YIYO, Buganda YANGE

Website

Buganda YIYO,  Buganda YANGE Contact information, map and directions, contact form, opening hours, services, ratings, photos, videos and announcements from Buganda YIYO, Buganda YANGE, Cultural Center, Kampala.

Okukoze Tekinologiya mu mulembe
guno omujja nga tulubirira okukuuma obutiribiri ekitiibwa
ky'Obwakabaka bwaffe okuva eri okusomozebwa
okwenjawulo okutambulira ku Tekinologiya.

29/08/2026
29/08/2026
29/08/2026

MANYA OMUKULEMBEZEWO MU BYBY.

Ssentebe wa Buganda Yiyo Buganda Yange
>> Munaawa Dan
>> Musajja Muganda
>> Yeddira Nnakinsige
>> Asibuka mu Ssaza lya Ssaabasajja Kabaka e Ssese.
>> Musajja ayagala nnyo Obwakabaka bwe era muwulize eri Nnamulondo
>> Musuubuzi era musawo wa ngatto ku Shoe Doctor Collection
>> Muweereza mu Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza Kyaddondo (Ssentebe w'Abaseesa mu Ssaza)
>> Muweereza mu kitongole kya Buganda Heritage and Tourism Board (Ow'Amawulire ku Lukiiko lwa Executive ya )
>> Muweereza ku mukitongole kya Kabaka Foundation (Tubeere Balamu Yinsuwa)
>> Mukugu munkozesa y'emikutu emigatabantu.
>> N'obuweereza obulala mu Bwakabaka bwa Buganda.

Oyo ye Ssentebe w'ekibiina kino Buganda Yiyo Buganda Yange

Ayagala okumanya abakulembeze bonna b'ekibiina kino genda ku website yaffe wamanga
29/08/2026

Ayagala okumanya abakulembeze bonna b'ekibiina kino genda ku website yaffe wamanga

Meet the dedicated team behind Buganda YIYO Buganda YANGE, working to protect and promote Buganda's cultural heritage.

MANYA OMUKULEMBEZEWO MU BYBY. Omumyuka wa Ssentebe Buganda Yiyo Buganda Yange. >> Omukungu Nsubuga Najib @⁨Nsubuga Najji...
29/08/2026

MANYA OMUKULEMBEZEWO MU BYBY.

Omumyuka wa Ssentebe Buganda Yiyo Buganda Yange.
>> Omukungu Nsubuga Najib @⁨Nsubuga Najjib BYBY2⁩
>> Musajja Muganda
>> Yeddira Mmamba Namakaka.
>> Asibuka mu Ssaza lya Ssaabasajja Kabaka Butambala.
>> Musajja ayagala nnyo Obwakabaka bwe era muwulize eri Nnamulondo.
>> Mulimi wa Mmwanyi.
>> Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board
>> Muweereza mu Minisitule y'Obuwangwa; Embiri; Amasiro; Obulambuzi n'Ebyokwerinda
>> Muwabuzi wa Buganda mu Buganda Youth Council
>> Munnamawulire omukugu.
>> Mukugu mukutumbula obulambuzi (Tourism Specialist)
>> N'obuweereza obulala mu Bwakabaka bwa Buganda.

Oyo ye Mumyuka wa Ssentebe Buganda Yiyo Buganda Yange

📖 ZINUNULA OMUNAKU.ESSULA 3: ZINUNULA BUBEEFUKA N’EMBOGO NGA tweyongerayo mu lugendo olwatutolosa eka, omusajja eyatuli ...
11/02/2026

📖 ZINUNULA OMUNAKU.

ESSULA 3: ZINUNULA BUBEEFUKA N’EMBOGO

NGA tweyongerayo mu lugendo olwatutolosa eka, omusajja eyatuli mu maaso twalaba ng’alina kyeyeekengera ne tuyimirira. Twagenda okulaba ng’agalamira, tuba tukyasamaaliridde, nga mu maaso gye twali tulaga efulumyeyo embogo eyakula n’egangayira, anti amayembe gonna nga gagisibaganye. Naffe ne tugalamira ne tulambaala ng’abafudde.

Twalowoozanga nti waliwo embogo emu, kazzi nga ziri bbiri. Bwe zaalaba nga tezitulaba, ne zijja nga zitunoonya. Bwe zaatuggukako ne zituwunyaawunyako ate ne zidda ku bbali ne zigalamira ne zituteega. Omusajja yalabaakanyego kalamuddwa akasiriikiriro, n’ayimusa ku mutwe alabe oba kiri mulaala. Aba atuula kazzi embogo eri awo obwedda egamwegese, kwe kunaawuuka eri ng’enjuki n’emutunga ejjembe mu mbiriizi n’emusitula n’emusinsimulira mu bbanga, n’emutujja ennume y’ekigwo yavuumiramu omulundi gumu nga lumalamu amazzi naye yafiira mu bulumi obutagambika!

Akasiriikiriro kaddawo naye nalaba wayiseewo ebbanga ggwanvu ddala ngampaawo kakuba, ne njagala nsitule ku mutwe ndabe oba embogo zigenze.Namagalaza amatu nga wonna cce, kwe kutuula ne mmagamaga nga siraba mbogo, ne nsituka. Mba nsituka ne mpulira Mikolo ng’aleekaana nti, ‘Gwa! ofa!’ Okukyuka nti ng’embogo eri kumpi nnyo okuntuukako ejja bukula. Ne nneewuttula kyabugazi ne njiringita ne nneevuunika ereme kunsogga nga ndaba, olwo nno ng’embuuse. Bwe yadda n’esenseza ejjembe wansi w’olubuto lwange. Eba ensitula, ne njiringita ne ndivaako ne nkola bwentyo emirundi esatu naye ku gwokuna ne ndaalira ku kikolo ky’akati. Yambinula n’emberula n’enkasuka mu bbanga, n’etega amayembe ng’erindirira nzire ngeetonnyeko gankole ogwa walugali.

Kyagibuukako, yakanda kutega mayembe na kulindirira mbu nzira, nga bwereere nze nfuuse musu gw’e Kanyanya ‘Mugenzitazze’. Tekuba kutya na nsisi, nandikubye n’enkwawa, anti embogo bwe yankasuka waggulu nagwa ku matabi g’obuti agaali gaboyeddwa ebibowabowa n’ebbombo ne ngalamira okwo bugazi nga siyinza kwenyeenya wadde okwekyusa olw’okutya okusumattuka okugwa wansi. Enjuba yali eri ku ggulu eryetadde ng’eyaka omusana ogwansiika ne gumbabira ne mbugujja ne nkamala nze nga buli kaseera mponga buwonzi Mikolo aleme kwenyeenya kumumalirako kiruyi. We nali nagiwuliranga ng’efuuwa. Mba ndi ku kibanyi kyange okwo, nga ndaba ssebukuule w’omusota ajja akkira ku ttabi ly’omuti eryali lireebeetera ku busammambiro bw’akati kwe nali ndaalidde. Ssessota bwe yali ali kumpi okutuukira ddala ku makoola ag’oku busanso bw’ettabi, ne yeezinga amakata n’asirika, olwo nno n’asigalira kutongeza nnimi. Nga wayiseewo ekiseera ng’omuntu ky’atambuliramu akatalatala akatono n’akamalako, oba gaali maanyi ga mpewo eyakunta oba akatabi kaatendewererwa obuzito bw’ery’e Kalungu ne simanya, anti nagenda okuwulira ng’essota linneegonnomola ku bigere. E e-e-e ne njula okufa ensisi. Bwe nateebanga okwenyeenya, nti limbojja ne ŋŋuma nagenda okuwulira nga lyezingulula mpola ne lijja nga lintambula, liiryo ku bisambi, ku lubuto, ku kifuba, tugatunuulaganyizza. Olwo nno okugwa n’embogo ne mbyerabira, ne ndowooza gusota ogwo gwokka, kwe kugubaka mu bulago ne nsindika eri ekinene. Nagenda okuwulira nga gwewuttudde wansi. Eyo gye gwalaga mpozzi ye yali embogo eyookubiri, yalaba gugirumba n’eyotta kubanga nawulira akabuguutano ng’edduka. Nze olw’okwenyeenya ennyo nga nsindika ogusota, ate nga n’ebibowabowa byayidde dda, byo kwe kwesenda ne bimpa ekyanya. Wamma ggwe ne ŋŋenda yiriyiri okuwummula nga nekkase ku mugongo gw’embogo nange nno ngyebagazze mabega ekintu kye saayagala. Ekyekango nga bwe kitamanya muzira, embogo bwe yalaba efunye omwebagazi gw’eteeyagalidde, n’etyekula emisinde n’egenda anti ng’ebuuka ebibanda! Nze olwo ne njiringita!

📖 ZINUNULA OMUNAKU ESSULA 2:   NNETONNYA MU NSI EBIGAMBO bisirikitu ddala ebyawambira ne bisimba amakanda era ne biteben...
10/02/2026

📖 ZINUNULA OMUNAKU

ESSULA 2: NNETONNYA MU NSI

EBIGAMBO bisirikitu ddala ebyawambira ne bisimba amakanda era ne bitebenkera mu mmeeme yange, nga biva mu ebyo jjajjange bye yannombojjera, ebyaliwo mu kuzaalibwa kwange. Nazaalibwa mu nsi y’e Tigati mu ssaza ly’e Kitoma, mu Ggombolola ya Bagayakyezinze, ku kyalo Ndolombe, mu kiseera Ssekabaka Kondooba Ndagu Balunginsiiti mwe yaggyira omukono mu ngabo, mutabani we Zigulensigo Kkonkomebbi Kitawongwa amale amuddire mu bigere, enjuba bwe yali egolooba ng’akasendabazaana keememula era ng’ezzooba lyakamala mbale kasookedde lyewanika mu lubaale. Ekyeya ekyayaka ppereketya, ekyayandaakalaza ensi yonna n’erakasira era ekyakooza abantu bonna akagiri bwe kyali kisendeekerezebwa nga kiri kumpi n’okulabibwa mu nkoona, enjala Tolyamunno, Kiryankondwe, Kisannumbu, Ssaanya, Gulikunfuuzi, Kakutiya, Kiryansanafu, okuggyako eno eya jjo ly’abalamu Gwomuwaddaakatebe, bwe zaali zimaze okubaawo era olutabaalo lwe Zinaddookunywa nga lwakadda. Mu maliiri g’olunaku olwo, kalenge eggulu yalitimba era ne ssuulwe yali yagudde mungi ekiro. Kyokka mu kiseera ky’akalasamayanzi obudde bwali bwetadde bulungi era ng’akasana keemulisa bulala awo ng’engajaba we zitandikira okulangaala bwe ziba nga zirima. Okuva mu ggwango okutuuka mu malya g’ebyemisana, enkuba egulansigo yafukumukamu kubanga omwaka omukazi gwali kumpi okukkirira, era okuva mu kiseera ekyo okutuukira ddala mu makola g’ebyeggulo obudde bwali bwa kitto era ekinnyikaggobe, ng’eggulu lyonna kazigizigi alirippyeeko era nga linyiibanyiiba. Naye nno olunywankoko olwawandaggirira nga ndi kumpi ddala okwetondeka mu nsi, eggulu lwe lwalyozaako ebire. Mu kiseera kyennyini kye nagoberamu mu nsi eno, akasana kaali kaaka bulungi era katangalijja ku bikoola by’ebimera. Mmange ne bajjajjange baasanyuka nnyo nga nzaaliddwa kuba kitange bwe yali afa yalaama nti, “mukazi wange ali olubuto bw’azaalanga ‘nnaatuukirira’ y’ansikiranga; naye bw’azalanga ‘gannemeredde’, omu ku baana ba baganda bange ansikiranga”. Ekintu ekitaasanyusa bajjajja bange taata okusikirwa ataviiridde ddala mu ntumbwe ze.


09/02/2026

AMASIRO GE KASUBI 🥰👌

Address

Kampala

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Buganda YIYO, Buganda YANGE posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Shortcuts

Share