13/04/2026
Nga 10 Kafuumulampawu 2026, Ekibiina kya Nkobazambogo Akalibaakendo ekya St. Peters Secondary School, Bombo -Kalulu mu Bulemeezi nga bakulembeddwamu Omuyima waabwe Omw. Jjuuko Moses Ebenezer wamu ne Ssentebe w'ekibiina kinno ku ssomero era ne ku mutendera gw'e Ssaza (Bulemeezi), muky. Mpologoma Flavia, baagenda ku ddwaliro lya Luweero Hospital ne bagabira abalwadde ebikozesebwa nga Sabbuuni, Suukaali n'ebintu ebirala. Bwebaava enno beeyongerayo ku ssomero lya Luweero Boys P/S era wanno ne bagabira abayizi ebintu ebikozesebwa mu kusoma omuli ebitabo, ekkalaamu, bbayiiro, "sets", ne "Sanitary pads" eri abaana ab'obuwala n'ebirala bingi
Kinno bakikola buli mwaka nga okujaguza amazaalibwa ga Kabaka n'okwagazisa abantu obwakabaka wamu n'okugyayo obulungi Ssaabasajja Kabaka kyakubiriza abantu be okuyamba abo abetaaga okuyambibwa